Muzze bujja endagamuntu - Tayebwa akunze bannayuganda
Ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’endagamuntu balabudde abantu abeenyigira mukuggya ssente ku bannnayugana abaagala okuzza obuggya endagamuntu zaabwe nga bagamba nti singa bakwatibwa kakubajjuntuka. Bano okwogera bino babadde mu maka ga Sipiika Thomas Tayebwa nga bamuwandiisa okuzza obujja endagamuntu ye. Tayebwa asinzidde eno n’akunga bannayuganda okwettanira enteekateeka eno mpozi n’okufuna obujjulizi ku bantu ababaggyako ssente basobole okukoebwako.