Museveni e Masindi: Abaayo abasabye basse essira ku kweggya mu bwavu
Omukulembeze w'egggwanga Yoweri Museveni asabye ab'e Bunyoro okusooka okussa essiro ku kweggya mu bwavu nga bayita mu nteekateeka ezenjawulo gavumenti z'etaddewo. Museveni bino abyogeredde Masindi gyasisinkanidde abakulembeze baayo nga n'oluvannyuma akubye olukungaana olwetabiddwako nnamungi w'omuntu Abakulembeze okuli ba minisita n'ababaka abava mu Bunyoro basabye omukulembeze w'eggwanga abazimbire eddwaliro n'akatala ebyomulembe .