Munnansi wa Portugal wakubisibirwa ku nnyindo
Kkooti enkulu ewozesa emisango gy'abakalintalo eragidde munnansi wa PORTUGAL Carlos Alberto De Almedia E Costa azzibwe e wabwe oluvanyuma lwokusingisibwa emisango gy'obuliisa maanyi . Kkooti y'emu esindise Carlos mu kkomera e Luzira okukaligibwa emyaka ena , wabula nga ekibonerezo kino kyakugwako nga 2nd June omwaka guno olwebbanga lyamaze ku alimanda . Carlos okutuuka ku kusalirwa ekibonerezo ekisaamusaamu kyadirira okukkiriza emisango mu nkola emanyiddwa nga plea-bargain Okusinziira ku nteekateeka eno eyakkirizibwa omulamuzi Andrew Bashaija , Carlos era asasudde obukadde amakumi asatu nga aliyirira omuwala ow'emyaka 16 gweyakolako obuliisa maanyi . Kyazulibwa nti ono okumukozesa yamala kumusasula . Bwatyo omulamuzi asazeewo nti ono bwamaliriza ekibonerezo nemisoso gyona alina Minisitule y'ensonga ez'omunda erina okumuzaayo mu ggwnaga lye . Carlos nga mutuuze ku kyalo Busibante mu divison ye Kiira agambibwa okuba nga mu 2022 yabeera n'omuwal ono ataneetuka gweyasasula nga ensimbi namukozesa.