MUKOZE OMULIMU MULUNGI: Bannaddiini basiimye bannamawulire
Olunaku lw’okukuza n’okujjukira eddembe ly’abannamawulire olwaleero lubadde lwa njawulo, nga si lwa kukumba na kuyisa bivvulu nga bwekibadde kitera okuba. Bangi ku bannamawulire basinzidde mu nzikiriza zaabwe olunaku ne balujjukira nga basaba okusobola okuwongayo emirimu gyabwe eri omutonzi. Bannamawulire abakrisitaayo babadde Namirembe so nga Abakatuliki balumaliddeko ku Lutikko e Lubaga.