Mukkaanye n’abasuubuzi ku misolo: Omulangira Nakibinge awabudde gavumenti
Jjaja w’obusiraamu mu ggwanga Omulangira Kasim Nakibinge ayagala Gavumenti etuule n'abasuubuzi basalire ensonga y'emisolo egiri waggulu amagezi . Kino kiddiridde abasuubuzi okutabuka nebatuuka n'okugalawo amadduuka gabwe Nakibinge agamba nti kyekiseera gavumenti ekendeeze ku nsaasanya yaayo kubanga okudiibuda ssente z'eggwanga mu bakungu baayo kususse. Eno y'emu ku nsonga Nakibinge gyawadde mu bubaka bwe obwa Eid oluvanyuma lw'okusaala okubadde ku Muzigiti e Kibuli.