MUGGULEWO AMASOMERO: Gavumenti eweereddwa amagezi
Okuva ku muggalo gwa ssenyiga omukambwe ogwasooka, abayizi abali eyo mu bukadde tebaddangamu kutunula ku lubaawo kusoma. Gavumenti nayo tenaba kukola kusalawo kwa nkomeredde ku ddi amasomero lwegagenda okuggulwa, ekitadde biseera by’abaana bano eby’omumaaso mu katyabaaga. Abantu bangi bazze bakuba omulanga amasomero n’amatendekero biggulwe kubanga eggwanga lyolekedde akazito k’ebinaava mu kukuumira ennyo abaana awaka kyokka nga butereere. Naff twogeddeko n’abakugu abawagira abantu ba bulijjo era nga bawadde n’amagezi ku butya kino gavumenti bweyinza okukituukiriza.