Mu kwetegekera akamyufu ka NRM,Rebecca Kadaga aggyeyo empapula okwesimbawo
Omumyuka ow'okubiri owa ssentebe w'ekibiina ki NRM mu ggwanga era omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y'e Kamuli Rebecca Alitwala Kadaaga agambye nti mpaawo kutya kweyaafunye okuva eri abalamuza ekifookye ku lukiiko olukulu olutwala ekibiina, newankubadde bangi beesomye. Kadaga agamba nti byakoze nga ali ku kifo kiono byeraga byokka , kale nga alina obukakafu nti wakuddamu ekifo kino akiwangule. Okwogera bino Kadaaga abadde ezze okukima empapula ku kutebe ky'ekibiina ki NRM , nga alaga obwetaavu bwokuddamu okukiikirira abantu be kamuli nga omubaka omukyala nga asinziira ku kaadi y'ekibiina .