Mariam Wangadya agamba eby’okubuuliriza ku baabula si baakubiddamu
Ssentebe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu Mariam Wangadya ategeezezza nga bwekiteetaagisa kakiiko kano kuddamu kunoonyereza kubantu abagambibwa nti baabuzibwawo , kubanga kino baakikola dda. Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde mu kusika omuguwa wakati w'oludda oluvuganya ne Gavumenti palamenti yasalawo nti akakiiko kano kaddemu okukola okunoonyereza. Wabula Wangadya agamba nti akakiiko ka palamenti ak'eddembe ly'obuntu ke kasaana okukola okunoonyereza kuno , kubanga bbo byebanazuula byolekedde obutamatiza bantu bamu , okujjako nga batadde omusango ku gavumenti.