LIIGI Y’EGGWANGA :URA ne Villa battunka nkya nga liigi ekomekkerezebwa
Omutendesi wa URA FC Sam Timbe atunuridde okuwangula omupiira ogugalawo liigi olunaku lw'enkya nga timu ye esamba ne Villa mu kisawe e Wankulukuku mu kawefube ow'okumawanira ekifo eky'okuna ne ttimu ya Arua Hill. Omupiira wakati wa Villa ne URA gwegumu ku mipiira essatu egisubirwa okuvaamu omuwanguzi wa liigi y'omwaka guno ekomekerezebwa olunaku lw'enkya.