Kkooti z'obusiramu abakyala baagala ziweebwe obuyinza
Kkooti etaputa ssemateeka olwaleero ewulirizza okwemulugunya kw'abakyala abasiraamu kwe bateekayo omwaka oguwedde nga beemulugunya ku kya kkooti z'obusiraamu ezikola ku nsonga z'amaka n'obufumbo okuba nga tezitongozebwanga palamenti ya kuno. Abakyala bano nga beegattira mu kibiina kyabwe ki Islamic Initiative for Justice, law and Peace, bagamba nti kikaluubiriza abakyala abasiraamu okufuna obwenkanya nga bafunye ebizibu mu maka gaabwe, kubanga kkooti za Khadi zebaddukiramu tezimanyiddwa mu mateeka, nga kale kyangu abo bebaba basoowaganye nabo okuwakanya ensala ya bamaseeka mu kkooti endala. Kye baagala, ye kkooti eno, okuwaliriza palamentieyise kkooti z'obusiraamu mu mateeka nga bye zisala biba bya nkomeredde nga biri mu mateeka.