KIBULI OKWETEGEKERA RAMATHAN: Supreme Mufti aliko entanda gy’asibiridde abasiraamu
Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi asabye abasiraamu okweyisa obulungi mu mwezi omutukuvu ogwa Ramathan ogusuubirwa okutandika wiiki ejja. Olwaleero y'ebadde ejjuma esembayo ng’abasiraamu beetegekera okutandika okusiiba era ku kasozi kibuli wabaddeyo omukolo oba Mawuledi ey’okwaniriza ekisiibo kino ng’eno etegekeddwa bakyala