KCCA yakukozesa amateeka okukoma ku bamansa kasasiro
Akulira emirimu gy’e Kibuga Kampala Doroth Kisaka, agamba nti ssente ze bafuna okuva mugavumenti zibamala okuddukanya emirimu gy’e Kibuga Kampala, ono wayogeredde bino nga waliwo okutya nti okusalika kwa ssente ze babadde bafuna kyandigootaanya empeereza
Okwogera bino Kisaka abadde mu bitundu bye Kamwokya gyakulemberedde kaweefube w’okuyonja
KCCA egamba yakwetegereza amateeka agaliwo okulaba nga bawa ba ssentebe b’entundu obuyinza okubonereza abo abagufuula omuze okumansa kasasiro.