KCCA egumizza abakozesa oluguudo lwa Sentema, nti lwakukolebwa
Abakozesa oluguudo lwa Sentema, olusangibwa mu disitulikiti ye Wakiso bakaaba olw'embeera embi oluguudo luno gyerulimu. Luno oluweza kilometer nnya lujjudde ebinnya nga buli nkuba lwetonnya embeera ejabagira so nga ne ku musana lulimu enfuufu eyamaanyi. Ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika agamba nti oluguudo luno lwandibadde lwakolwa dda wabula lukereyezeddwa olw'okwerumaruma mu kitongole kya KCCA ku ani alina obuvunaanyizibwa ku kukola oluguudo luno.