Kaziimba alabudde amasomero ku biva mu bazungu
Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda Dr. Stephen Kaziimba Mugalu, asabye bannauganda okwetegerezanga ebirabo bye bafuna okuva mu bagwira nga bigenda eri abayizi ng'agamba nti bingi biggyiramu obubaka obwobuseegu obuyinza okubonoona. Kazimba abadde aggulawo ettabi eddala ery'essomero lya Gayaza Juniro e Jungo mu district ye Wakiso.