Kanyeihamba aziikiddwa, bamukubidde emizinga okusiima obuweereza bwe eri eggwanga
Eyaliko omulamuzi wa kooti ensukkulu eyafa sabiiti bbiri eziyise e mabega Professor George Wilson Kanyeihamba kyadaaki aziikiddwa mu makaage e Buziga mu kampala nga bweyalaama.Olw’emirimu emirungi gyeyakolera eggwanga ono asiibuddwa n’e mizinga mukaaga. Ayogeddwako ng’omusajja eyawaayo buli kyalina okunyweza enfuga etambulira ku mateeka mu ggwanga , kko n’okuwa ekitiibwa eddembe ly’obuntu.