Eyalongoosebwa omutima ataawa talina ziddayo - 0752403266, 0773620727 - Josephine Nakiberu
Mu bitundu by'e Kasangati eriyo omukyala Josephine Nakiberu atubidde n'omwana we wa myaka 14 eyazaliibwa nga talina musuwa gutambuza musaayi okugutuusa ku mawuggwe.Omwana ono yalongoseebwako n'ateekebwamu akapiira akabadde kakola ng'omusuwa ogwo okuva ku myaka esatu mu 2015. Ono yakubirizibwa okuzzaayo omwana ono ku myaka kkumi assibweyo akasuwa akalala k'aliwangaala nako, kyokka omwana n'emyaka gino gigenda kumusukkako ekiyinza okumuviirako okufa.Eddwaliro mu buyindi eryamukolako lyabasaba obukadde 70 wabula nga Kelezia y'e Gayaza, abakristu baayo ab'ekisa bakamusonderako obukadde 20.Nakiberu alina omwana omu yekka, era singa aba talongooseddwa ensi ajja kuba talina kyakunguddemu.