Ettemu e Nkumba - Katabi: 4 bakwatiddwa ku by’okutta omuwanika w’omuzikiti
Poliisi mu bitundu by’e Ntebe etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo akabinja k’abasiramu e Nkumba- Katabi mu district y’e Wakiso abakakkanye ku muwanika w’omuzikiti webasaliira nebamukuba okutuusa lwebaamumizizza omusu. Akamadah Luswa, abadde muwanika ku muzigiti oguyitibwa Answari. Poliisi ekutte abantu bana b’eteebereza nti beenyigidde mu ttemu lino erirowoozebwa okuba nga liva ku nkayaana ku mmaali y’obusiraamu.