ESTHER NAKAJJIGO :Engabanya ya ssente kkooti y’amerika zeyawadde famire
Abamerica abagambibwa okutulugunya omwana ow'emyaka e kumi baziddwayo mu kkomera e Luzira , kubanga poliisi ekyanoonyereza ku nsonga zabwe. Mackeinze Leing Spencer ne bba Nicholas Spencer batuuze be Naguru mu Ggombolola ye Nakawa.Bano kati baakamala emyeze biri mu nkomyo kubigambibwa nti baliko omwana gwebatwala okulabirira ate nebasalawo okumutulugunya .Baggulwako emisango gy'okutulugunya , okukukusa omwana nga gino giwozesebwa mu kkooti enkulu.Bano bakomezeddwawo mu kkooti olwaleero era munnamateeka wabwe nayagala okumanya wa okunoonyereza ku bantu be wekutuuse . Omuwaabi wa gavumenti Joan Keko wabula ategeezezza nga bwebakyali mu budde bwabwe obwemyezi omukaaga mwebalina okunoonyereza ku nsonga z'abano.Bwatyo omulamuzi Sarah Tusiime Tushabe akkaanyiza n'oludda lw'omuwabi wa gavumenti bwatyo bano nabalagira bagire nga baddayo e Luzira okutuusa nga 21st-February 2023.Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa 2020 ne 2022 mu maka gaabwe e Naguru, bano baliko omwana ow'emyaka ekumi gwebaatulugunya , omwali n'okubaako akasenge akatono mwebamusibira yekka.