ENSONGA Z’OMWANA OMULENZI: Ssaabalabirizi Kaziimba ayagala gav’t ezisseko omulaka
Ssaabalabirizi we kkanisa ya Uganda Stephen Kaziimba Mugalu asabye gavumenti esseewo entekateeka ey’okukulakulanya omwana omulenzi. Okusinzira ku Kaziimba, entekateeka za gavumenti ez’okukulakulanya abakyala n’abaana abawala zivuddemu ebibala nga kati kye kiseera n’abaana abalezi baweebwe omukisa gwe gumu. Ono abadde akulembeddemu okusaba kwa mazuukira ku kkanisa ya All Saints e Nakasero.