Ennyonyi ya Uganda egudde e Somalia efiiriddemu abantu bataano
Abadduukirize mu ggwanga lya Somalia bakyali ku muyiggo gwa bannayuganda abayinza okuba nga bafiriidde mu kabenje k'ennyonyi nnamunkanga akagudde mu kibuga ekikulu Mogadishu.Ennyonyi egudde ku kisaawe ekikulu ekya Somalira era ng'ebaddemu abantu 8.Eggye ly'omukago gu AMISOM likakasizza akabenje kano.