Enkola ya yinsuwa: Ddi lw’oteekeddwa okuliyirirwa?
Nga tugenda mu biseera by’ennaku enkulu ebitera okweyolekeramu ennyo obubenje, abakugu bakubirizza abalina ebidduka b’ettanire okuteeka ebidduka byabwe mu yinsuwa. Bano bannyonnyodde amakulu ga yinsuwa z’emmotoka, ddi yinsuwa lw’esasula ne lw’etesasula ssinga wabaawo akabenje. Okunnyonnyola kuno bakukoze nga bageraageranya ku kabenje akaagudde e Namboole gyebuvuddeko ne mufiiramu abantu 2 abalala 13 ne bafuna ebisago, emmotoka 13 nezonooneka saako ne ppiki 2.