ENKOLA YA KKAMERA OKUKUBA EBIPAPULA: Waliwo atutte gavumenti mu kkooti egiwere
Waliwo munnayuganda adukkidde mu mbuga z’amateeka ng’ayagala kooti enkulu eyimirize emirimu gya kampuni ya Joint Stock Global Security ekola ogw’okukola enamba za mmotoka empya, kko n’okukunganya ensimbi eziva mu bipapula ebikubwa ab’ebiduka abamenye amateeka g’okunguudo Kagingo Muhammad awaabye omusango guno alumiriza nti mukiseera bano webaweebwa kontulakiti baali bajjiddwa ku lukalala lwa kampuni ezimanyiddwa mu ggwanga kubanga baali bamaze ebbanga nga tebalaga nyingiza yaabwe. Abaloopye Balumiriza nti eno kampuni ya kiyita mulujja, era nga terina busobozi buddukanya mulimu nga guno. Omusango gugenda kuddamu okuwulirwa nga kkumi omwezi ogujja.