ENKAAYANA KU TTAKA:Waliwo abalumbye essomero baliwambe
Ku kyalo Nakasozi -Buddo waliwo ab’oluganda abalumbye essomero li Buddo Hill Junior School Matutu nga balumiriza muganda waabwe okuligabira musiga nsimbi nga tamaze ku bebuzaako. Bano bagamba nti essomero lino lyali lya kitaabwe omugenzi, kyoka oluvanyuma lw’okufa muganda waabwe eyasika Fredrick Kabanda nasalawo okuligaba,bbo kye bawakanya. Poliisi eyingidde ensonga zino , nebalagira ensonga bazitwale mu mbuga z’amateeka.