ENDWADDE Z’EMITWE MU BAANA: Abakugu baagala wabeewo ekikolebwa mu bwangu
Abakugu mu by'obwongo baagala wabeewo okuddamu okwetegereza ebyensoma mu ggwanga okusobola okutaasa abayizi okufuna obuzibu ku bwongo. Bano bagamba nti ensoma eriwo mu kiseera kino eteeka omugugu munene ku bayizi kubanga kati bangi ku bbo beeyongedde okwettanira amalwaliro okufuna obujjanjabi mu by'obwongo. Minisitule y'ebyobulamu leero lwekuzizza olunaku olukwata ku by'obwongo oba Mental Health Day