Empaka z’ebikonde: Uganda yaakukiikirirwa abazannyi 6 mu za Mandela Cup
Uganda yakukiirirwa abazannyi b'ebikonde mukaaga mu mpaka za Mandela Cup eziggyibwako akawuwo ku lw'okubiri lwa sabiiti ejja mu Kibuga Durban mu south Africa. Mu bazannyi abalondeddwa okukirira eggwanga mu mpaka zino, mwemuli ne musaayi muto Ukasha Matovu azannyira mu buzito bwa kilo 64 oba kiyite Welter weight. Matovu mukisera kino ali mu kaweefube wa kwetegekera mpaka zino.