EMPAKA Z’EBIKONDE: Nanziri ne Achieng battunka nkya
Omukubi w’ebikonde Catherine Nanziri olwaleero apimiddwa ng’aweza kkiro 53. Ono olunaku lw’enkya lwagenda okuttunka ne Munnakenya Nicoline Achieng owa kkiro 52.7 ku musipi gwa East and Central African Boxing Union ku New Obligatto mu Kampala. Mu ng’eri y’emu waliwo n’ennwana endala kkumi na lumu omuli n’olwa Frank Kiwalabye agenda okuvuganya ne Idrisa Feruzi okuva e Kenya.