EMPAKA Z’ABALINA OBULEMU: Masisa ne Ocira bagenda South Africa
MU WIIKI emu, abaddusi Fred Masisa ne Richard Ocira ba kugenda e South Africa bayingire enkambi gye baayitibwa okwetegekera empaka za Commonwealth Games ez’abalina obulemu eziribeerawo mu mwezi gw’omusanvu e Bungereza. Ocira asibuka e Gulu addukira mu kagaali era ali mu muteeko gwa wheel chair racing.