EMISANGO GY’OKULONDA: Ogwa Mukesh ne Ssenyonyi gusalwa mu wiiki bbiri
Kooti enkulu Mu kampala etaddewo nga 14 omwezi guno okusala omusango Shukla Mukesh gweyawaaba ng'awakanya obuwanguzi bwa Joel Ssenyonyi ku kifo ky'omubaka wa Nakawa West Mukesh nga yali avuganya ku kifo ky'ekimu mu kalulu akaggwa alumiriza nti Ssenyonyi yenyigira mu kubba obululu Olwalero joel ssenyonyi abuzidwa kajojijojji webibuzo okuva mu ba puliida ba Mukesh nga baagala kumanya lwaki ebimu kubiwandiko ebili ku mpapula za ka kiiko kebyokulonda ezawebwa joel senyonyi nga zikakasa obuwanguzi bwe tezikwatagana nazza Mukesh. Nancy Birungi nga ono yeyakuliramu okulonda mu kitundu kye Nakawa abadde asubirwa mu kooti okubuzibwa oludda oluwabi talabiseko nga kkooti etegeezeddwa nti alumizibwa ekirwadde ki Covid-19