EMIRIMU MU BITONGOLE BYA GAVUMENTI: Awava obuzibu mu by’ensimbi woogeddwa
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera eggwanga ekya National Planning Authority kitegeezezza nga abanywanyi b'emikago obutawa Uganda buyambi bwa nsimbi ku ntandikwa y'omwaka gw'ebyensimbi guno bwe kyakosa ebitongole bya gavumenti bingi mu byensimbi. Bano bagamba nti wadde ekitongole ky'omusolo ki URA kyakungaanya ensimbi nnyingiko, zaali tezisobola kuziba kituli kino. Abakulu bano babadde mu kakiiko ka palamenti akakola ku by'ensimbi.