Emikago gy’ebyobufuzi , aba NUP bagamba bakyajeekengera
Abakulu mu kibiina ki NUP batubuulidde nti bakyebalamye emikago gy’ebyobufuzi ensangi zino, oluvanyuma lw’okukizuula nti bangi ku basaba enkolagana baba n’ebigendererwa ebikusike.Ayogerera ekibiina kino Joel ssenyonyi atugambye nti newankubadde kikulu nnyo okugatta amaanyi n’ebibiina ebirara, naye byebakesembereza biba n’ebigendererwa ebyawukana ku bya bannayuganda.Atugambye nti bakusigala nga bakolagana na buli kibiina ekiyayaanira enkyukakyuka, okusalawo ku ani alina okulondebwa, bakulekere bannayuganda.