EKIRWADDE KYA ANTHRAX: Kyakatta 14 e Kyotera, abaayo baliyita ddogo
Ab'eby’obulamu mu disitulikiti y’e Kyotera basabye abantu baayo okwewala eby’okulowooreza mu ddongo bakimanye nti ekirwadde ekitta abantu mu kitundu kino kirina kujjanjabibwa basawo bazungu . Abantu 14 beebakafa mu bbanga lya myezi esatu, nga kiva ku kirwadde ekiyitibwa Anthrax. Abasawo bategeezezza nti abantu abafa baalya ente efudde ekirwadde kino nga mu kiseera kino kyejiriisiza mu Ggombolola ye Kabira.