EDDAGALA ERIWEWEEZA KU MUKENENYA: Abalina akawuka bakukkulumye, terikyalabika
Wabaluseewo okutya mu bantu abawangaala n'akawuka akaleeta mukenenya oluvanyuma lw'okumala ebbanga nga tebalina ddagala liweweeza kawuka kano. Okusinziira ku bano, ebbula ly'eddagala lino lisinze ku ly'abo bekasekenyeza enyo, ng'okuva mu mwezi ggwa November omwaka oguwedde gavumenti ebadde ebanjalira ngalo. Bino babyogeredde mu lukungaana ne bannamawulire mwebalagidde okutya nti bannaabwe bano bandirugulamu obulamu.