Ebyava mu kamyufu, akakiiko katandise okuwulira okwemulugunya kwa banna NRM
Akakiiko akenjawulo akassibwawo ssentebe w'ekibiina ki NRM era omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni, okutunula mu kwemulugunya kwabannakibiina abataamatira byava mu kamyufu ka Kibiina katandise okukola ku nsonga z'abeemulugunya. Abeemulugunya bazze ne bannamateeka baabwe so nga ne bebeemulugunyako nabo babadde balina okwewozaako okulwanirira obuwanguzi bwabwe Raymond Tamale yalondodde ebibaddeyo.