EBY’ENTAMBULA E NAMUGONGO: Poliisi efulumizza enteekateeka
Poliisi efulumiza engeri gyegenda okulungamyamu eby’entambula ku lunaku lw’abajjulizi olunabaawo nga ssatu omwezi ogujja e Namugongo . Aba Taxi balabuddwa nti e Kyaliwajjala tewagenda kubeera siteegi wakuttikira basaabaze era nga abanaakwatibwa baakuweebwa ebipapula oba engassi.
Oluguudo oluva e Kireka okudda e Kyaliwajjala lugenda kutwala mmotoka ezidda e Kyaliwajjala zokka.