Eby’ensawo ey’okubbulula kampuni bikyali biwanvu
Ab'amokolero amatonotono ababadde balinze okuganyulwa mu nsawo eyateekebwawo pulezidenti okubbulula bizinesi ezaakosebwa omuggalo, baakugira nga balindako, okusinziira ku mawulire agava mu bavunaanyizibwa ku nsonga eyo. Private Sector Foundation Uganda etegeezezza nti gavumenti ne banka bikyakkanya ku butya sente zino bwezinaagabanyizibwamu, b'ani abanaaganyulwa na butya bwebanaazisasula. Ensawo eno eyalangirirwa ku nkomerero y'omuggalo ogw'okubiri mu July, egenderedde kubbulula kampuni ezitakka wansi wa mitwalo amakumi asatu.