EBOLA MU GGWANGA : Minisitule y’ebyobulamu egamba abaakafa bali 11
Ministule y'ebyobulamu egumizza banayuganda nti bakola kyonna ekisoboka okulaba nti embeera y'ekirwadde kya Ebola tesajjuka.Bbo abantu abakafa ekirwadde kino kati baweze 11 .Kitegereke nti Ministry y’ebyobulamu eriko abantu belondoola 58 mu distulikiti y’e Mubende abasuubirwa okuba n’obulwadde bwa Ebola.
Okusinzira ku mwogezi wa minisitule y’ebyobulamu Emmanuel Ainebyoona, bano basuubirwa okuba nga baaliranako abantu abakasangibwa n’obulwadde bwa Ebola nga n’olwekyo balina okwekebejjebwa.