EBBULA LY’AMASANNYALAZE E MUKONO: Abatuuze bagamba bamaze ebbanga nga tebagalina
Ebbula ly'amasanyalaze mu bitundu bye Kanikwa, Kasozi, Nammere nebyalo ebiriraanyewo mu disitulikiti ye Mukono gebakaaba gebakomba olw’ebbula ly’amasanyalaze . Abakozi b’emirimu nga weldingi, saluuni n’abamaduuka bagamba emirimu gituuse okubalema olwebbula ly;amasanyalaze eryava ku kufa kwa tulansifooma yaabwe kati emyezi esatu egiyise.