Ebbeeyi y’emmwanyi egudde, ababaka baagala omuwendo ogw’essalira
Ababaka ba palamenti baagala gavumenti eveeyo eteekewo omuwendo ogw'essalira ogugulibwako emwaanyi okuyambako okukakkanya abazirima abali mu kweraliikirira olwa bbeeyi y'azo okusigala ng'egwa.Bino webijjidde nga gavumenti yategeezezza nga okugwa knwa bbeeyi y'emwaanyi bwekutavudde ku nteekateka zaayo wabula olw'okuba nti ensi endala ezikola obulungi mu kulima emwaanyi z'azeemu okufulumya emwaanyi mu bungi.