E MIKOLO GYE NAMUGONGO: Ekijjukizo ky’abakrisitaayo kikyuse
Mu mwaka gwa 2021, ekkanisa ya Uganda yatandikka ku mulimu gw'okuzimba ekifo aw'okusabira nga buli ssatu June ku ludda lw'abakristaayo e Namugongo.Enteekateeka eno yava mu kirooto ky'eyali Ssaabalabirizi w'ekkanisa kati omugenzi Rev. Dr Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo eky'okukuza ekiggwa ky'abajjulizi ku ludda lw'abakristaayo.Ekkanisa egamba nti omulimu ky'enkana guwedde era nga kati ekirindiddwa b'ebakkiriza okweyiwa mu kifo kino okusinza ku lunaku mulindwa.