E Kasese ekirwadde kya nalubiri kisse abantu 10 mu myezi munaana
Wabaluseewo obweraliikirivu mu disitulikiti ye Kasese olw’omuwendo gw’abantu abafa ekirwadde kya Nalubiri okweyongera. Mu myezi munaana gyokka, abantu 10 be bafudde u kitundu kino. Ab’ebyobulamu mu kitundu kino bagamba nti weetaagisaawo kaweefube w’okumanyisa abantu ku kirwadde kino naddala mu baagalana basobole okwekebeza nga tebannazaala, okusobola okuziyiza ekirwadde kino.