E Kapchorwa bazzemu akamyufu ka NRM, abatuuze ne kuluno balwanaganye
Wabaddewo akanyoolagano mu disitulikiti ye Kapchorwa, bannakibiina ki NRM bwebadde bazeemu okulonda abanaabakwatira bendera mu kulonda kw’ababaka ba palamenti okwasazibwamu nga 17th omwezi oguwedde.Abatuuze bagamba nti waliwo abantu abalabiddwako ng’abalonda emirundi egyisukka mu gumu , songa abalala bawandiikiddwa kyoka nga okuzza obuggya enkalala zabalonzi kwaggwa dda.