DESIRE MIREMBE: Oludda oluwaabi luwumbyewubye ensonga
Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono, Henry Kaweesa ataddewo olwa 17 Jan 2022 okuwulira ensonga z;aba Puliida ba Mathew Kirabo agambibwa okuba nga y'enyigira mu kutta muganzi we kati omugenzi Desire Mirembe bwe baali basoma obusawo ku Yunivasite e Makerere. Olunaku lwa leero, oludda oluwaabi nga lukulemberwa omuwaabi wa gavumenti Happiness Ainebyona, lumalirizza okuleeta abajulizi bwalwo nga n'asembyeyo okuweza abajulizi e 15 ye Herbert Wanyoto ono nga ye wa poliisi eyakola ku kunoonyereza n'okujja statimenti ku muwawaabirwa. Oludda oluwaabi luwadde ng'obujulizi ekiwandiiko (Statement) ekiraga omuwawaabirwa byeyayogera kyokka nga looya ba Kirabo Dalton Opwonya akiwakanyizza nga agamba nti tekirina kabonero kalaga nti omuntu we yakikkiriza nakissaako omukono. Omulamuzi Kaweesa alabudde abawolereza omuwawaabirwa okwewala okumala obudde bwa kkooti nategeeza nga bwebalina okukkaanya n'omuwaabi, okuwanysiganya ebiwandiiko ebyetaagisa era bwebatyo badde mu kkooti nga 17 Jan okuwulira okwewozaako kwabwe. Yye Mathew Kirabo alumirizibwa ku ttemu lino nakati tamanyiddwako mayitire