Bobi Wine asisinkanye abantu abatambulirako ensonga mu kitundu kya Acholi
Robert Kyagulanyi Ssentamu nga aliwamu ne Olara Otunnu basabye bannauganda okwewala embeera yonna eyokweyawula mu mawanga . Ono okwogera bino abadde asisinkanye abantu abenjawulo abatambulirako ensonga mu kitundu kya Acholi okuli ne Ssaabasumba we Ssaza ekkulu erye Gulu. Kyagulanyi enkya asuubirwa okukyalako mu maka ga Oulanya mu Ajuri okumukungubagira.