Biibino ebikwata ku Paapa Leo XIV enzaalwa ya America
Paapa Leo XIV y’omu ku ba kalidinaali abaabadde tebasimbiddwako nnyo ssira ku bantu abayinza okulya obwa Paapa olw’ensonga nti n’ebimwogerwako bibadde bitono.Kyokka ono bw’omwetoloola, lw’okizuula nti abadde na bingi by’abadde akola oba oli awo, ebyamuwanzizzaako eddusu banne, nebamulonda okukulembera Ekelezia y’omukama.Katulabe ebimu ku bimukwataako.