Besigye ne Lutale bakomyewo mu kooti
Oludda oluwaabi mu musango oguvunaanwa Dr. Kizza Besigye, Obedi Lutale kko n’omujaasi wa UPDF Capt Denis Ola baagala kkooti ebawe olukusa olufeffetta ebiri mu ssimu zaabwe , bafune obujjulizi obumala ku misango egibavunaanwa.Omuwaabi wa gavumenti mu musanto guno Richard Birivumbuka agambye nti bakyataawana na kuzuula bukakafu obulumika bano,kyoka singa bakkirizibwa okukebera ebiri mu masimu gabavunaanwa,buli kyebetaaga kijja kuba kiwedde.Bino abyogeredde mu kooti esookerwako e Nakawa Besigye ne banne bwebababde bakomyewo mu kooti okwewozaako ku misango gyokugezaako okuwamba gavumenti.