Bbomu e Munyonyo, ekituufu ekyaviiriddeko okubwatuka
Olunaku lw'eggulo, amagye gaavuddeyo ne gewaana nga bwe gaasobodde okutangira abatujju abaabadde beetisse bbomu nga kirowoozebwa baabadde bagyolekeza kiggwa ky'abajulizi eky'e Munyonyo.Oluvannyuma lw'akatambi akaafulumye nga kooleka engeri bbomu eno gye yatuliseemu, kyalesse bangi nga bebuuza engeri amagye gye gaakikozeemu.Okusinziira ku bakugu mu nsonga z'ebyokwerinda, ekya UPDF okuba nga yayimirizza obutujju buno kisoboka mu ngeri emu ate nekitasoboka mu ngeri endala.Katubinnyonnyoke.