BANKUBAKYEYO MU BUWALABU: Waliwo abaagala eby’okubatwalayo biyimirire
Waliwo abalwanirira eddembe lya bankubakyeeyo abagala government eyimirize bunnambiro okutwala banna Uganda mu mawanga g’abawalabu okukubayo ekyeeyo okutuusa nga waliwo ebiterezeddwa, naddala ku ngeri gyebayisibwamu. Ozze owulira ebikolwa by’okutyoboola eddembe ly'abawala abakola obwa yaaya nga waliwo n’abamu abagyibwamu ebitundu byabwe eby’omunda n’ebitundibwa songa baangi era abafiriddeyo.