Bakubye Ssentebe, bawannyondo bamulanze kubalemesa kutwala nte z’abatuuze
Ssentebe w’eggombolola ya Kyayi mu disitulikiti y’e Ggomba anyiga biwundu oluvannyuma lw’abakuumaddembe ne bawannyondo ba kkooti okumutulugunya bwe yabadde ataasa ente z’abatuuze be obutatwalibwa bawannyondo ba kkooti. Omu ku batuuze yeewola ensimbi n’asingayo ente. Ensimbi bwe zaamulemye okusasula, kigambibwa bawannyondo abazze okubowa ente ze ate baatwaliddemu n’ezabatuuze abalala abatalina musango. Bano ssentebe eyakubiddwa be yabadde alwanirira.