Babiri barwanira bendera ya NRM e Nakaseke ku kya ssentebe
Wabaluseewo enkayaana wakati wabannakibiina ki NRM babiri nga buli omu akayaana nti yeyasunsulwa okukwatiira ekibiina bbendera. Bino biri Kinoni mu district y'e Nakaseke. Patrick Tumwesigye ne Ham Nahurira buli omu alumiriza nti ye yawuuta akamyufu k'ekibiina. Kigambibwa nti akakiiko ka NRM ak'ebyokulonda kasooka ne kalangirira Rwakashaija wabula Nahurira bweyeekubira enduulu obuwanguzi bwa Rwakashaija nebusazibwamu.