Ataakulaba: Enkwata y’amawemunkirano
Mu Mirembe egyayita Kyali kivve omwana omuwala okufunira olubuto ku lugya, era ago baagayitanga mawemukirano Omuwala oyo nga bamuboola, nga n’awaka bamugobawo kubanga yabanga aleseewo olukomera wakati we ne bazadde be. Mu nnono ya Baganda, omwana ng'oyo yalinanga okuyita mu bulombolombo obutali bumu okumalawo ekikwa kino.